Dunia Lyrics - Genius Omuzira # Music Lyrics

  • By  Climate
  •   •  
  • May 25, 2020
  •   •  
  •   25 views

Share lyrics

INTRO Tugitandika na kukaaba nga batuzadde Mu bulumi obw'ekitalo obuyitiridde Tufundikira tetugiriimu nga tufudde Ensi. Omuzira Genius

(Eyo Scoffi) VERSE ONE Dunia lugendo luwanvu naye teruwoneka Lusingamu hard times zokka Emmotoka gw'eva mikono y'atawanika Ensonga ziizino, Lwaki bagidduka? Ebirime tebikyadda ettaka lyafuluka Akuwola ettaano ayagala omusingire maka Amasomero ogamba geegaafuuka bank Anti kati sente zonna gyeziggwera Zebasaba zokka okwewandiisa edda zaali ziweerera Okufuna omulimu omala kuwaayo misale N'agukufunidde nga akucharginga ku salary Aw'okuzimba kati ofuna foot bbiri Kyokka nga abaana oyina lukunkumuli Okutunda omusaayi business ekutte akati Basaze bantu nebakuba n'obulatti Tunaddawa mu Dunia ekalubye bweti?

CHORUS Ndi ku lugendo neenonya ngeri gyenfighter mu Dunia Ndi ku lugendo neebuuza biki byengikolamu ebyange Ndi ku lugendo Aaaahhh nwana kulaba nga nfunamu akalembereza Neebuuza muno mu Dunia ddala mpiseemu ntya? x2

VERSE TWO Ndiba na kaki mu Dunia nze omuwejjere? Nga buli kigirimu kyafuuka kya buseere Obubbi muyyo sirina na bwenkinnyonnyola N'omufu ali emagombe bamuziikula Nebamujjamu sanduke mwali ne bagitwala Okubuulira omusawo ekikuluma omala kusasula Kyokka nga ne treatment takuwadde Ku masomero n'atali mulekwa abika abazadde N'alayira nga bwebaafa afune sponsor Ne gw'osobezza akatini akazimbulukusa N'agenda akuloopa mu mbuga afune z'akujjamu Gw'osaba akuwole rupeer asooka zisuza ku bijja Bank property for sale ogamba motto ya gwanga Toyisa nnyumba bbiri nga tonnakisanga Ebizimbe byetwegomba wansi bitudde ku buwanga Genius Omuzira

CHORUS X2

VERSE THREE Tutuuse okwerya entama okusinziira bwendaba Buli kimu kya kaweereege okukifuna kutoba Gw'osaba akusalireko nga ogula abula na kkukuba Abali ku myalo n'amaggi babula kugavuba Akuyingiza ekkomera aba ayagala ovundireyo Emirimu gyebalanga gyonna gya ntuuyo Kyokka nga okola 24/7 Okufuna ogutamenya bya mwana w'ani Olowooza okwetandika naye nebiwakana Capital nga weetaagira ddala buwanana Rent gw'osasula ng'amagoba tomufuna Saako competition ereeta ne fitina Amasanyu g'ensi nago gasikaasikanya Z'obalira ekirala weesanga ozikyakadde Tunaddawa mu Dunia ekambuwadde? Nga n'atayina kiwandiiko ajja n'akufuumuula ku ttaka kw'owangalidde ye asimbe kalittunsi CHORUS.

If you are a musician, be it upcoming or famous and you wish to drop your music for fans to access it here online. You can send your songs or song to info@ugamusic.biz or Call Climate on +256771345613 for further help or Whatsapp at +256781999391.

PLEASE LEAVE A COMMENT