x
x

Kawala Kalungi - Zanie Brown # Music Lyrics

  • By  Climate
  •   •  
  • Feb 05, 2020
  •   •  
  •   598 views

Share lyrics

  Kawala Kalungi Lyrics - Zanie Brown #

Wano mu nsi okimanyi Awaba ekirungi n’ekibi Obwo obulungi bwo amakula Bukozese ng’ogenderera Yakutonda, oli mulungi ng’osikiriza N’ate bw’oba omuwala Abasajja batega engalo buli gy’oyita Baba n’obukodyo kikumi Bakutengule ebyo mubimanyi

Kyenva nsanyuka n’ono omumbejja Ankuumye talanta Paka ku luno Kawala kalungi obulungi bwo Talanta gikuume ng’ekyatika Nga tobalese bagizannyise Bagifuule ekipapula Endinikanyi mu ngule osaabane ebisooto Eyaweebwa ebingi manya Asuubirwamu bingi Kuuma talanta eyo, eeh

N’omulungi alaba ennaku Ebikemo biba bingi Oluusi kabeera kato ka nnyabo Naye ng’era, bakakuba akalimi Nga kye banoonya Bakasuuze engule yaako Obulungi buba nga omubissi Enjuki, n’ebiwuka biba bingi Nga ne bw’ogoba, oba ng’abayita Nkirabyeko nange

Kyenva nsanyuka n’ono omumbejja Ankuumye talanta Paka ku luno Kawala kalungi obulungi bwo Talanta gikuume ng’ekyatika Nga tobalese bagizannyise Bagifuule ekipapula Endinikanyi mu ngule osaabane ebisooto Eyaweebwa ebingi manya Asuubirwamu bingi Kuuma talanta eyo, eeh

Naddala abaana ab’obuwala Mujje tuteese (tuteese) Eno Team Talanta tozikiza ate (ate) N’eyazaala ak’obuwala team y’emu (y’emu) Ono akuumye talanta Afunye engule leero Naddala abaana ab’obuwala Mujje tuteese (tuteese) Eno Team Talanta tozikiza ate (ate) N’eyazaala ak’obuwala team y’emu (y’emu)

Ono akuumye talanta Afunye engule leero Kawala kalungi no naawe Talanta gikuume nno bambi Tomala gagenda na bagenda Tossa majaani ku buugi Ekyo kirabo Katonda kye yakuwa Waliwo ebisooto mu kkubo Tambula bulungi tobigwaamu ‘Cause you got so much to gain And you got so much to loose ‘Cause you got so much to gain And you got so much to loose

 
If you are a musician, be it upcoming or famous and you wish to drop your music for fans to access it here online. You can send your songs or song to info@ugamusic.biz or Call Climate on +256771345613 for further help or Whatsapp at +256781999391.

PLEASE LEAVE A COMMENT